Tomuta

Verse 1:
Omukyala omufumbi, Abange tasangika (A good wife is hard to find)
Gila mukwaate butilibili (If you find one handle her with care)
Slay queen takusigula (do not be swayed by slay queens)
Slayer akyamula nyo, Naye mudda omwejjusa (A slayer is so exciting, but regrettable)
Kubanga balimba nyo, ebikolwa eneeyisa (Because they are so cunning and pretentious)
Sibangu kubuuka, baasoma okwetega (They are too good to be noticed)
Ovanga ku muntu anywa emillion omunaana (Imagine drinking eight million)
Omwezi negugwaako, kyokka rent nebamugoba (But fail to pay their rent)
So nga makeup taabule (Yet they won’t luck makeup)
Photoshoot na bizigo (Photoshoots and cosmetics)
Slayer oyo aya ohh (That slayer)
Somehow emboozi zeezimu (they somehow have the same talk)
Naye ate gwe onoonya kamu (You are just a hustler)
Abasuubuzi sooka olindemu (Let the slay queens be)
Akako kakuzazaamu (your income is limited)
Lwekanagwaawo nga olwo oweddemu (you will go bankrupt)

Chorus:
Omukyaala akuzimba tomuta (Don’t let go of a woman who adds value to you)
Mukwaate tomuta (don’t let go)
Mukwaate Mukwate Tota, Mukwaate tomuta (do not let her go)
Omukyaala akuzimba tomuta (Don’t let go of a woman who adds value to you)
Mukwaate tomuta (don’t let go)
Mukwaate Mukwate Tota, Mukwaate tomuta (do not let her go)
Omukyala akuzimba, akuzimba tota (Don’t let go of a woman who adds value to you)

Verse 2:
Sibagaanye, kulya ku nsimbi (I do not forbid you from chopping your money)
Kinyuma nyo, nga mulya obulamu (It’s good to enjoy life)
Kiba kya nyo, nga muteesa (it’s nice to talk things through)
Nemukolela wamu okwezimba (You empower each other)
Kiluma nyo nga muyomba (it’s so sad when you argue)
Nebyemukoze mubyonoona (you might destroy what you built)
Omuntu ateesiga munne aluma (a mistrusting partner is bad)
Yefaako yekka, ajigijja (so selfish, so painful)
Ba slayer abo baagala nyo Gifts ebbala nookulya (slay queens love gifts and eating)
Bwasaba essimu eyafulumye empya Nogaana enkeela naweta (they leave if you can’t afford a latest phone)
Naye ate oweeka yazaala abaana naalela (but your wife gives life and nurtures)
Ebimuluma naaguma, nayonsa maama naakuza (she is so patient and cares for the children)

Chorus:
Omukyaala akuzimba tomuta (Don’t let go of a woman who adds value to you)
Mukwaate tomuta (don’t let go)
Mukwaate Mukwate Tota, Mukwaate tomuta (do not let her go)
Omukyaala akuzimba tomuta (Don’t let go of a woman who adds value to you)
Mukwaate tomuta (don’t let go)
Mukwaate Mukwate Tota, Mukwaate tomuta (do not let her go)
Omukyala akuzimba, akuzimba tota (Don’t let go of a woman who adds value to you)
Obeelelangawo munno wo (always be there for your partner)
Eyo nno yenkola (it is the way to go)
Osanyukila wamu ne munno wo (be happy with your partner)
Eyo nno yenkola (it is the way to go)
Okaabilanga wamu ne munno wo (even in sadness stick together)
Eyo nno yenkola (it is the way to go)
Kubanga ye wuwo ye wuwo ye wuwo (because they are your own)
Eyo bwetyo yenkola (it is the way to go)
Mwattu ye wuwo ye wuwo ye wuwo (because they are your own)
Eyo nno yenkola (it is the way to go)

Eddy Kenzo & Big Talent Entertainment Ltd

Beliebteste Lieder von Eddy Kenzo

Andere Künstler von Pop